Leviticus 25:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Go amalundiro agali ku bibuga byabwe tegatundibwanga, buno butaka bwabwe obw'olubeerera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ettaka erirundirwako eririraanye ebibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga obwo bwe butaka bwabwe ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ettaka erirundirwako ab'omu bibuga byabwe, teriitundibwenga kubanga liba lyabwe ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ennimiro ey'omu byalo ebiriraanye ebibuga byabwe tetundibwanga; kubanga bwe butaka bwabwe olw'ennaku zonna.