Leviticus 25:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Muganda wo bw'adoobanga nga takyasobola kweyimirizaawo mu mmwe, muyambenga nga bwe wandiyambye omugwira oba omusenze, asobole okusigala mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Muisiraeri munno bw'ayavuwalanga nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga, nga tasobola kweyimirizaawo, omuyambanga n'abeera naawe ng'omunoonyi w'obubudamo era omutuuze ow'ekiseera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwadde, omukono gwe ne guggwaamu amaanyi gy'oli; kale onoomuyambanga: anaatuulanga naawe ng'omugenyi era ng'omuwaŋŋanguse.