Leviticus 25:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tomuwolanga na buliika, wabula tya Katonda wo, muganda wo asobole okusigala mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tomuggyangako magoba; naye otyanga Katonda wo, muganda wo alyoke abeerenga naawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tomuggyangako magoba n'akatono, naye otyanga Katonda wo, n'oleka Muyisirayeli munno n'abeera naawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tomutwalangako magoba newakubadde ebisukkirira; naye otyanga Katonda wo: muganda wo alyoke atuulenga naawe.