Leviticus 25:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssente zo tozimuwolanga na buliika, wadde okumuguza emmere yo ng'onoonyaako amagoba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Toomusabenga magoba ku nsimbi z'omuwola, wadde okumusasuza emmere gy'omuwa okulya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tomuwolanga bintu byo lwa magoba, so tomuwanga byakulya byo olw'ebisukkirira.