Leviticus 25:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Muganda wo bw'adoobanga n'atuuka n'okwetunda gy'oli, tomukozesanga ng'omuddu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde ddala, nga takyesobola, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era Muyisirayeli munno bw'anaayavuwalanga ne yeetunda gy'oli, toomukozesenga mirimu ng'omuddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era muganda wo bw'aba ng'ayavuwalidde gy'oli, ne yeetunda gy'oli; tomufuulanga muddu okukuweerezanga: