Leviticus 25:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye omwaka ogwomusanvu Sabbaato, ettaka lya kuwummula; Sabbaato ey'okuwummula ku lw'Omukama. Tosiganga nnimiro yo, n'emizabbibu gyo togisaliranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo Ssabbiiti ey'okuwummula, ey'okwewombeekerako eri ensi, Ssabbiiti eri Mukama; tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omwaka ogw'omusanvu, gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala, omwaka oguweereddwayo eri Mukama. Temuusigenga nnimiro zammwe, era temuusalirenga nnimiro zammwe ez'emizabbibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu mwaka ogw'omusanvu wanaabangawo ssabbiiti ey'okuwummula ey'okwewombeekerako eri ensi, ssabbiiti eri Mukama: tosiganga nnimiro yo, so tosaliranga lusuku lwo.