Leviticus 25:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma alikuviira n'addayo, ye n'abaana be, mu baganda be ne ku butaka bwa bajjajjaabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be, n'adda mu butaka bwa kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo anaakuvangako ye n'abaana be, n'adda mu bantu be,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'alyokanga akuvaako, ye n'abaana be awamu naye, n'adda mu nda ze ye, ne mu butaka bwa bakitaawe mw'anaddiranga.