Leviticus 25:42 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Abayisirayeli baddu bange, nze nabaggya mu nsi y'e Misiri; si ba kutundwanga nga baddu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Abaisiraeri baddu bange, be n'aggya mu nsi y'e Misiri; temutundibwanga kuba baddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Tebaatundibwenga mu buddu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baddu bange, be nnaggya mu nsi y'e Misiri: tebatundibwanga okuba abaddu.