Leviticus 25:45 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyinza era okubagula mu baana b'abasenze abali mu mmwe ne mu ŋŋanda zaabwe abazaaliddwa mu nsi yammwe ne bafuukira ddala bammwe ab'obwannannyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne ku baana ba bannamawanga abatuula mu mmwe oba ku ŋŋanda zaabwe, oba be baazaalira mu nsi yammwe; nabo banaabanga nvuma zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaayinzanga okugula abaana b'abagwira n'ab'eŋŋanda zaabwe ababeera mu mmwe. Abaana be bazaalira mu nsi yammwe, banaabanga nvuma zammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ku baana b'abagenyi abatuula mu mmwe, ku abo kwe munaagulanga ne ku ŋŋanda zaabwe eziri nammwe, be baazaalira mu nsi yammwe: nabo banaabanga nvuma zammwe.