Leviticus 25:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muyinza n'okubalaamiranga abazzukulu bammwe ng'obusika bwabwe obw'obwannannyini, ne bafuuka baddu baabwe emirembe gyonna; naye bo baganda bammwe, Abayisirayeli, temubafuzisanga bukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era banaabanga nvuma eri abaana bammwe abanaabaddiriranga; ku abo kwe munaggyanga abaddu ennaku zonna; naye baganda bammwe, abaana ba Isiraeri temubafuulanga baddu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era munaabalaamiranga abaana bammwe ng'obusika, ne bafuuka envuma zaabwe. Abo be munaafuganga obuddu. Naye Abayisirayeli bannammwe, temuubafugenga na kkaaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaabafuulanga obusika eri abaana bammwe abanaabaddiriranga okuba nabo okuba envuma; ku abo kwe munaatwalanga abaddu bammwe ennaku zonna: naye baganda bammwe abaana ba Isiraeri temubafuganga mwekka na mwekka lwa maanyi.