Leviticus 25:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Omugwira oba omusenze asula mu mmwe bw'agaggawalanga, muganda wo adoobye amala yeetunda eri omugwira asula mu mmwe, oba ew'omulala ow'olulyo lwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era munnaggwanga oba omutambuze bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde ddala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba omutambuze ali naawe, oba eri ow'olulyo lwabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omugwira abeera mu mmwe bw'aba ng'agaggawadde, kyokka Muyisirayeli munnammwe n'ayavuwala, ne yeetunda eri omugwira oyo, oba n'atundayo omuntu ow'omu maka ge okuba omuddu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omugenyi oba muwaŋŋanguse ali naawe bw'aba ng'agaggawadde, ne muganda wo ng'ayavuwalidde gy'ali, ne yeetunda eri omugenyi oba muwagganguse ali naawe, oba eri olukolo lw'enda z'omuwaŋŋanguse: