Leviticus 25:49 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kitaawe omuto, kojjaawe, oba muganda we mu lulyo lwe ayinza okumununula, naye bw'aligaggawala, aliyinza okwenunula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
akyayinza okuba kojja we, oba omuntu yenna amuli okumpi mu luganda, oba bw'aba nga agaggawadde anaayinzanga okwenunula yekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kitaawe omuto, oba mutabani wa kitaawe omuto, oba omulala ku booluganda lwe ow'okumpi, anaayinzanga okumununula. Oba naye yennyini bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba kojja we, oba mutabani wa kojja we, anaayinzanga okumununula; oba omuntu yenna ku nda ze amuli okumpi mu luganda anaayinzanga okumununula oba bw'aba ng'agaggawadde, anaayinzanga okwenunula yekka.