Leviticus 25:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebimererezi tobikungulanga, n'ebirimba eby'omu nnimiro yo ey'emizabbibu gy'otoosalira tobinoganga, kubanga mu ogwo omwaka ettaka lirina okuba n'omwaka ogw'okuwummula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga; gunaabanga mwaka gwa kuleka ttaka liwummule.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibala by'ebirime byammwe ebyemeza byokka temuubikungulenga, n'eby'emizabbibu egitali misalire temuubinogenga. Gunaabanga mwaka gwa kuleka ettaka liwummulire ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekyo ekimera kyokka ku bikungulwa byo tokikungulanga, ne zabbibu ez'oku muzabbibu gwo ogutali musalire tozinoganga: gunaabanga mwaka gwa kuwummula okw'okwewombeeka eri ensi.