Leviticus 25:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babalagananga n'eyamugula okuva oli lwe yeetunda okutuusa ku mwaka gw'Ekijaguzo; ssente ez'okumununula zijja kugererwanga ku ezo ezisasulwa omupakasi mu bbanga ery'emyaka ono gy'amaze nga mugule.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, era omuwendo gw'anaamusasulanga gunaabanga ng'ogw'omukozi ow'empeera bwe guba, ogw'ebbanga eryo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaateesanga n'oyo eyamugula, ne babalirira emyaka okuva mu kiseera kye yeetundiramu, okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, omuwendo gw'asasula okwenunula ne gugererwa ku mpeera y'omukozi, egwanira emyaka egyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaabaliranga oyo eyamugula okuva ku mwaka mwe yeetundira gy'ali okutuusa ku mwaka gwa jjubiri: n'omuwendo ogw'okutundibwa kwe gunaabanga ng'omuwendo gw'emyaka bwe gunaabanga; ng'ebiro eby'omusenze akolera empeera bwe biri bw'atyo bw'anaabanga naye.