Leviticus 25:51 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba emyaka egikyabulayo okutuusa ku mwaka gw'Ekijaguzo mingi, asasulangayo ekitundu ekisinga obunene ekya ssente ezaamugula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera ekisigaddeyo bwe kinaabanga ekinene anaamuddizanga ku muwendo gwe yamugula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anazzangayo ekitundu ky'omuwendo gwe yamugula, nga bagerera ku myaka egikyasigaddeyo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mingi, ng'egyo bwe giri bw'anazzanga bw'atyo ku muwendo ogw'okununulibwa kwe ng'aguggya ku bintu ebyamugula.