Leviticus 25:52 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba mitono, abaliriranga n'asasula okununulibwa kwe okusinziira ku myaka gy'amukoledde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emyaka bwe ginaabanga emitono okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, anaamusasulanga omuwendo ogubalirirwa mu myaka egyo egisigaddeyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'ekyasigaddeyo emyaka mitono okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, kale anaamubaliranga; ng'emyaka gye bwe giri bw'anazzanga bw'atyo omuwendo ogw'okununulibwa kwe.