Leviticus 25:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wa kubalibwa ng'omupakasi abadde asasulibwa buli mwaka. Olina okulaba ng'eyamugula tamufuzisanga bukambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Anaabanga naye ng'omukozi ow'empeera buli mwaka, naye tamufuulanga muddu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga babala empeera eya buli mwaka. Eyamugula taamufugenga na kkaaze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Anaabanga naye ng'omusenze akolera empeera buli mwaka: tamufuganga lwa maanyi mu maaso go.