Leviticus 25:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe wabulangawo amununula mu buli ngeri yonna, era wa kuteebwanga, ye n'abaana be mu Mwaka ogw'Ekijaguzo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaanunulibwanga mu mwaka gwa jjubiri n'abaana be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'ataanunulibwenga bw'atyo, ye n'abaana be banaateebwanga mu mwaka ogw'okujaguza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'ataanunulibwenga bw'atyo, kale anaagenderanga mu mwaka gwa jjubiri, ye n'abaana be awamu naye.