Leviticus 25:55 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Abayisirayeli baddu bange; baddu bange be naggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga muli baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: Nze Mukama Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Abayisirayeli baddu bange, be naggya mu nsi y'e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abaana ba Isiraeri baddu gye ndi; be baddu bange be nnaggya mu nsi y'e Misiri: nze Mukama Katonda wammwe.