Leviticus 25:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ettaka bye libazanga mu mwaka ogwa Sabbaato kwe mulyanga, ggwe, omuddu wo n'omuzaana wo, omupakasi, abasenze bo, n'abalala bonna abasula ewuwo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde ettaka teriirimwenga omwaka ogwo gwonna, naye linaababalizanga emmere, mmwe n'abaddu n'abazaana bammwe, n'abakozi bammwe, n'abagwira ababeera mu mmwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ssabbiiti ey'ensi eneebanga kya kulya gye muli; eri ggwe n'eri omuddu wo n'omuzaana wo, n'omusenze wo akolera empeera n'omugenyi wo atuula naawe;