Leviticus 25:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Obalanga sabbaato musanvu ez'emyaka, kwe kugamba, emyaka musanvu emirundi musanvu; gino gye myaka amakumi ana mu mwenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era oneebaliranga Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza Ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda (49).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munaabalanga emyaka musanvu emirundi musanvu, gye myaka gyonna awamu amakumi ana mu mwenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oneebaliranga ssabbiiti musanvu ez'emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu; era wanaabangawo gy'oli ennaku eza ssabbiiti musanvu ez'emyaka, gye myaka ana mu mwenda.