Leviticus 25:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mwezi ogwomusanvu, ku lunaku olw'ekkumi, ku Lunaku olw'Okuddaabiriza mufuuwanga eŋŋombe wonna mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu; ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu, olunaku olw'okuddaabiririzaako, munaatumanga omuntu n'atalaaga ensi yammwe yonna, ng'agenda afuuwa eŋŋombe ey'omwanguka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'olyokanga otambuza ekkondeere ery'eddoboozi eddene ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'okutangiririrako kwe munaatambulizanga ekkondeere okubunya ensi yammwe yonna.