Leviticus 26:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Temwekoleranga bifaananyi bya balubaale ebyole, temusimbanga mpagi za mayinja, era mu nsi yammwe temussangamu bifaananyi bya balubaale bibajje mu mayinja kubisinza. Kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Temwekoleranga bifaananyi oba okwesimbira ebifaananyi ebyole, oba amayinja ge muyise amatukuvu, era temuteekanga mayinja mawoole mu nsi yammwe okugavuunamiranga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde ejjinja eriri mu butonde bwalyo, newakubadde ejjinja eryole okubivuunamiranga; kubanga nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temwekolerenga bifaananyi oba okwesimbirawo ekifaananyi ekyole, wadde empagi esinzibwa, oba ejjinja eryole okubisinzanga. Nze Mukama Katonda wammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwekoleranga bifaananyi, so temwesimbiranga kifaananyi kyole, newakubadde empagi, so temuteekanga mu nsi yammwe jjinja lyonna eririko enjola, okulivuunamiranga: kubanga nze Mukama Katonda wammwe.