Leviticus 26:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muliba mukyalya ku byakungulwa mu mwaka oguyise, ne muwalirizibwa okuggyamu ebikadde mukolere ebiggya ekifo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaabanga mukyalya ku makungula ag’omwaka oguyise ne mugafulumya olw’amakungula amaggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaalyanga ku bye mwakungula edda bye mwatereka, era munaafulumyanga ebyo ebinaabanga bikyasigaddewo olw'okuyingiza ebiggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaalyanga ku bye mwakungula edda ne mutereka, era munaafulumyanga ebyo ebikadde okuyingiza ebiggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaalyanga ku byaterekebwa edda ebyaludde, era munaafulumyanga eby'edda olw'ebiggya.