Leviticus 26:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe muligaya ennamula yange, bwe mulikyawa amateeka gange, bwe mutalituusa mpisa zange, bwe mutyo ne mumenya endagaano yange,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe munaanyoomoolanga ebiragiro byange ne mukyawa amateeka gange, ne mulemwa okutuukiriza ebiragiro byange ebyo byonna, bwe mutyo ne mutakuumanga ndagaano yange,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe munaagaananga amateeka gange, ne mukyawa ebiragiro byange byonna era ne muleka endagaano yange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era bwe munaagaananga okukwata amateeka gange ne mukyawa bye mbakuutira, era ne mutatuukiriza biragiro byange byonna, bwe mutyo ne mumenya endagaano gye nkoze nammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe munaagaananga amateeka gange, n'obulamu bwammwe bwe bunaakyawanga emisango gyange, n'obutakola ne mutakolznga biragiro byange byonna, naye ne muleka endagaano yange: