Leviticus 26:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange bino bye ndibakola: “ ‘Ndibaleetera ebikangabwa, endwadde ezikenenya, emisujja egiziba amaaso n'egyo egikonvubya; mulisigiranga bwereere ensigo, kubanga abalabe bammwe be balibirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale, kino kye ndibakola: Ndibaleetera entiisa eza mangu ez’embagirawo, n’obulwadde obw’olukonvuba obubalumya akasiiso n’omusujja, ebiribaziba amaaso ne bibakamulamu obulamu. Era muliteganira bwereere okusimba ebibala byammwe, kubanga abalabe bammwe be balibirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nange nnaabakolanga bwe nti: nnaalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso nezikoozimbya obulamu bwammwe. Munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ndibabonereza bwe nti: ndireeta entiisa mu mmwe. Omusujja n'endwadde ezitawonyezeka biribaziba amaaso, ne bikonzibya obulamu bwammwe. Mulisiga ensigo, naye teziibagasenga, kubanga abalabe bammwe banaabawangulanga ne balya bye musize.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nange naabakolanga bwe nti; naalagiranga entiisa okubeera ku mmwe, akakono n'omusujja, ebinaamalangamu amaaso, ne bikoozimbya obulamu: era munaasigiranga busa ensigo zammwe, kubanga abalabe bammwe banaaziryanga.