Leviticus 26:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Singa n'oluvannyuma temulimpulira, ndibabonereza okusingawo emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo byonna okubatuukako, era bwe mutaŋŋonderenga, kale ndyongera okubabonereza okusingawo emirundi musanvu, olw’ebibi byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyo byonna bwe binaamalanga okubaawo, era ne mutampulira, ekibonerezo kyammwe nnaakyongerangako emirundi musanvu olw'ebibi byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebyo byonna bwe binaalemwanga okubampuliza, kale ndyeyongera emirundi musanvu okubabonereza olw'ebibi byammwe.