Leviticus 26:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndimenya okwekuza kw'obuyinza bwammwe. Eggulu ndirifuula ng'ekyuma waggulu wammwe n'ettaka ne liba ng'ekikomo wansi wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amalala gammwe n’emputtu ndibibaggyamu, eggulu ne likakanyala ng’ekyuma, n’ettaka ne likaluba ng’ekikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnaggyangawo amalala n'okwegulumiza kwammwe, era nnaalagiranga enkuba obutatonnya ku ttaka lyammwe, ne lifuuka olukalajje.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaamenyanga obukakanyavu bw'olwetumbu lwammwe. Tewaabenga nkuba. Kale ensi yammwe erikala, n'eba ng'ekyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naamenyanga amalala ag'obuyinza bwammwe; era naafuulanga eggulu lyammwe okuba ng'ekyuma, n'ettaka lyammwe okuba ng'ekikomo: