Leviticus 26:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okutegana kwammwe kulibeeranga kwa bwereere, kubanga ettaka teriimezenga nsigo, n'emiti tegiibalenga bibala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaanyi gammwe ganaabafanga busa, kubanga ettaka lyammwe teriivengamu mmere yaalyo, wadde emiti egy’omu nsi yammwe okubala ebibala byagyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amaanyi gammwe ganaagenderanga busa; kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe munaakolanga emirimu, amaanyi gammwe ganaabafanga bwereere, kubanga ettaka lyammwe teriibazenga bibala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amaanyi gammwe ganaagenderanga busa: kubanga ensi yammwe teebalenga kyengera kyayo, so n'emiti egy'omu nsi tegiibalenga bibala byagyo.