Leviticus 26:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bwe mulinneefuulira okunnwanyisa nga temwagala kumpulira, ebibonerezo byammwe ndibikubisaamu emirundi musanvu ebibi byammwe nga bwe bigwanira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Era bwe muneeyongeranga okutambulira mu makubo ge sikkiriza, ne mugaana okumpulira, ndyongera okubaleetako endwadde nnyingi nga za mirundi musanvu ng’ebibi byammwe bwe byenkana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe munaayongeranga okutambulira mu bukakanyavu bwammwe ne mutampulira, ndyongera emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bwe munaayongeranga okumpakanya n'obutampulira, ekibonerezo kyammwe era nnaakyongerangako emirundi musanvu, okusinziira ku bibi byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe munaatambuliranga mu kuyomba nange, ne mutampulira; ndyeyongeranga emirundi musanvu okubaleetako ebibonyoobonyo ng'ebibi byammwe bwe binaabanga.