Leviticus 26:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndibasindikira ekitala kiwoolere eggwanga olw'okumenya endagaano yange. Bwe muliddukira mu bibuga byammwe ndibayiwamu kawumpuli ne mbawaayo mu mikono gy'omulabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nnaabaleeteranga entalo okwesasuza olw’okumenya endagaano. Bwe muneekuŋŋaanyizanga mu bibuga byammwe, nnaabaleeteranga endwadde enkambwe, era n’abalabe bammwe banaabawangulanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nnakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, era munaawangulwanga abalabe bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaabaleeteranga entalo okubonereza eggwanga lyammwe lye nakola nalyo endagaano. Era bwe muneekuŋŋaanyizanga awamu mu bibuga byammwe okwetaasa, nnaabasindikangamu kawumpuli, ne muwalirizibwa okwewaayo eri abalabe bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naabaleetangako ekitala, ekinaawalananga eggwanga ery'endagaano; era munaakuŋŋaanyizibwanga wamu mu bibuga byammwe: era naasindikanga kawumpuli ku mmwe; era munaagabulwanga mu mukono gw'omulabe.