Leviticus 26:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebiggwa byammwe ebigulumivu ndibizikiriza, n'emyaliiro kwe mwokera obubaani ndigimenyaamenya, emirambo gyammwe ndigituuma ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe ebya balubaale; omutima gwange gulibeetamwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndizikiriza ebyoto bya bakatonda bammwe, ne ntemaatema bakatonda abalala, ne ntuuma emirambo gyammwe ku mirambo gya bakatonda abalala; era ndibakyawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nnaazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu, ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba bye musinza, n'emirambo gyammwe ginaagwanga ku bifaananyi byammwe, era n'obulamu bwange bunaabakyawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaazikirizanga ebifo eby'oku nsozi bye musinzizaamu balubaale, ne mmenyerawo ddala ebyoterezo byammwe eby'obubaane, n'emirambo gyammwe ne ngisuula ku mirambo gy'ebyo bye musinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naazikirizanga ebifo byammwe ebigulumivu ne nsuulira ddala ebifaananyi byammwe eby'enjuba, ne nsuula emirambo gyammwe ku mirambo gy'ebifaananyi byammwe; n'obulamu bwange bunaabakyawanga.