Leviticus 26:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga byammwe ndibifuula matongo, ebifo byammwe ebitukuvu birifuuka bifulukwa, siriwunyiriza na kawoowo ka bitambiro byammwe akasanyusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga byammwe binaasigaliranga awo tayo, n’ebifo byammwe ebitukuvu nga tebiriiko abifaako, era n’akaloosa akava mu biweebwayo byammwe tekansanyusenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naazisanga ebibuga byammwe, era nnaafuulanga ebifo byammwe bye musinzizaamu okuba amalungu; siisanyukirenga kaloosa ak'ebiweebwayo byammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaabeetamwanga, ne nsaanyaawo ebibuga byammwe, n'ebifo mwe musinziza, era ne sikkiriza bitambiro byammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naazisanga ebibuga byammwe, era naafuulanga awatukuvu wammwe malungu, so siiwulirenga lusu lw'akaloosa kammwe.