Leviticus 26:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe nzija kubasaasaanya mu mawanga; ndisowola ekitala kyange ne mbagoba. Ensi yammwe erifuuka ddungu, n'ebibuga byammwe matongo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibasaasaanyiza mu mawanga ne mbagobereza ekitala kyange. Ensi yammwe erifuuka amalungu n’ebibuga byammwe nga bimenyeddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe nnaabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera; n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaabaleeteranga entalo, ne mbasaasaanyiza mu mawanga. Ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe ne bisigala matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe naabasaasaanyanga mu mawanga, ne nsowola ekitala okubagoberera: n'ensi yammwe eneebanga ddungu, n'ebibuga byammwe binaazikanga.