Leviticus 26:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi eryeyagalira mu sabbaato zaayo ennaku z'erimala nga ddungu nga mmwe muli mu nsi y'abalabe bammwe; eriba mu kuwummula ng'esanyukira mu sabbaato zaayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ettaka ne liryoka lifuna emyaka egya ssabbiiti zaalyo mu bbanga eryo lye lirimala nga tewali alifaako, nga mmwe muli mu nsi z’abalabe bammwe; ettaka ne liwummulako ne lyeyagalira mu ssabbiiti zaalyo ezo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ensi n'eryokanga esanyukira ennaku zaayo ez'okuwummuza ettaka, naye nga mmwe muwaŋŋangukidde mu nsi ey'abalabe bammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo ensi n'eryoka esanyukira emyaka gyayo egy'okuwummula, mmwe gye mutaagiwa nga mugirimu. Erirekebwa awo n'ewummula, mmwe nga muwaŋŋangukidde mu nsi y'abalabe bammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ensi n'eryokanga esanyukira ssabbiiti zaayo, ennaku zonna z'eneezikiranga nammwe nga muli mu nsi y'abalabe bammwe; awo ensi n'eryokanga ewummula n'esanyukira ssabbiiti zaayo.