Leviticus 26:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu alyesittala ku munne, ne bagwaŋŋanako kyenkana ng'abadduka ekitala, sso nga mpaawo abagoba. Temulifuna gayimirira mu maaso g'abalabe bammwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaagwaŋŋanangako ng’abadduka okwewonya omulabe ow’ekitala newaakubadde nga tewaabengawo babawondera. Bwe mutyo temuusobolenga kwolekera balabe bammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka olutalo, nga tewali abagoba; so tebaabenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaalinnyaganangako mwekka na mwekka, nga tewali abawondera, era temuubengako mulabe gwe muyinza kulwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era banaalinnyagananga bokka na bokka, ng'abadduka ekitala, nga tewali agoba: so temuubenga na maanyi okuyimirira mu maaso g'abalabe bammwe.