Leviticus 26:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndibawanga enkuba mu budde bwayo, ettaka liribabaliza ensigo yaalyo n'emiti giribawanga ebibala byagyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nnaabatonnyesezanga enkuba mu ntuuko zaayo, n’ettaka linaavangamu ebibala byalyo, n’emiti egy’omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale naabawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nnaabawanga enkuba mu biseera byayo, ensi n'ebaza ebirime, n'emiti egy'omu nnimiro ne gibala ebibala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale naawanga enkuba yammwe mu ntuuko zaayo, n'ensi eneebalanga ekyengera kyayo, n'emiti egy'omu nnimiro ginaabalanga ebibala byagyo.