Leviticus 26:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nange ebyandeetera okubalwanyisa ne mbawaŋŋangusiza mu nsi y'abalabe baabwe, kale nno ng'omutima gwabwe ogutali mutayirire gwetoowazizza, ne basasula olw'ekibi kyabwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebyandeetera okubalaga obukambwe ne mbasindika ne mu nsi z’abalabe baabwe, era amalala g’emitima gyabwe egitali mikomole bwe galikkakkana ne bakkiriza okukola ebibonerezo olw’ebyonoono byabwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ekyandeetera okubaleka okuwangulwa abalabe baabwe; naye bwe baneetoowazanga mu mitima gyabwe, ne bategeere okusobya kwabwe okw'obutali butuukirivu bwabwe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bandeetera okubalwanyisa n'okubatwala mu nsi y'abalabe baabwe, bazzukulu bammwe abo bwe balimala okutoowazibwa, ne bakkiriza okubonerezebwa olw'ebibi byabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nga kyennaava ntambulira nange mu kuyomba nabo ne mbaleeta mu nsi y'abalabe baabwe, kubanga baatambulira mu kuyomba nange: kale omutima gwabwe ogutali mukomole bwe gunaatoowazibwanga, kale ne bakkiriza okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe;