Leviticus 26:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi baligireka awo ttayo, kyokka erisanyukira mu sabbaato zaayo ebbanga ly'eribeerera awo nga tebaliimu. Bo balisasula olw'ebibi byabwe, kubanga ddala baasambajja ennamula yange n'amateeka gange ne bagakyawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ensi banaabanga bagivuddemu n’efuna ssabbiiti zaayo kubanga abaagibeerangamu tebakyagirimu. Banaabonerezebwanga olw’ebibi byabwe kubanga baanyoomoolanga amateeka gange ne batagondera biragiro byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ensi eneewummulanga n'ezika olw'okubonerezebwa okw'obutali butuukirivu bwabwe, olw'okugaana okukwata ebiragiro byange n'amateeka gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ensi eneemalanga kulekebwa n'ezika, bo nga tebaliimu, n'ewummula, era banakkirizanga okubonerezebwa olw'okujeemera ebiragiro byange, n'obutakwata mateeka gange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ensi banaagirekanga, n'esanyukira ssabbiiti zaayo, ng'ekyazise bo nga tebaliimu; era banakkirizanga okubonerezebwa kw'obutali butuukirivu bwabwe: kubanga baagaana emisango gyange, eyo ye nsonga, n'obulamu bwabwe ne bukyawa amateeka gange.