Leviticus 26:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Newandibadde ebyo biri bityo, nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, sigenda kubasuulira ddala na kubeetamwa kutuusa ku kubamalirawo ddala, ate ne mmenya bwe ntyo endagaano yange nabo. Nze Mukama Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’ebyo biriba bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi z’abalabe baabwe, siibeggyengako wadde okubakyawanga n’okumenyawo ne mmenyerawo ddala endagaano yange gye nalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Newakubadde ebyo binaabanga bwe bityo, bwe banaabanga mu nsi y'abalabe baabwe siibaviirengako ddala, siibakyawenga era siibazikiririzenga ddala, olw'endagaano yange gye nnalagaana nabo; kubanga Nze Mukama Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebyo byonna ne bwe binaabanga bwe bityo, nga bakyali mu nsi y'abalabe baabwe, siibeegobengako, wadde okubakyawa okutuuka okubasaanyizaawo ddala, n'okumenyawo endagaano gye nakola nabo, kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ebyo byonna nga bimaze okubaawo, bwe banaabanga nga bali mu nsi y'abalabe baabwe, siibagaanenga, so siibakyawenga, okubazikiririza ddala, n'okuleka endagaano yange gye nnalagaana nabo: kubanga nze Mukama Katonda waabwe: