Leviticus 26:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuwuula ebikunguddwa kulituusanga ku kunoga emizabbibu, n'okunoga kulituusanga ku kusiga; muliryanga omugaati gwammwe ne mukkuta, ensi yammwe muligituulamu ntende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaawuulanga okutuusa ku makungula g’emizabbibu, n’okukungula emizabbibu kunaabatuusanga mu biseera eby’okusiga; era munaalyanga emmere yonna nga bwe mwetaaga, ne mubeera mu nsi yammwe nga mulina emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebirime byammwe binaabalanga nnyo, ne muwuulanga eŋŋaano okutuuka ku kunoga emizabbibu, n'okunoga ne kutuuka mu kiseera eky'okusigiramu eŋŋaano. Munaalyanga emmere ne mukkuta, era munaabeeranga mirembe mu nsi yammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuwuula kwammwe kunaatuukanga ku kunoga zabbibu, n'okunoga kunaatuukanga ku biro eby'okusigiramu: era munaalyanga emigaati gyammwe okukkuta, ne mutuula mu nsi yammwe mirembe.