Leviticus 26:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abataano mu mmwe baliwondera ekikumi, n'ekikumi baliwondera omutwalo, abalabe bammwe ne bafa ekitala kyammwe awo mu maaso gammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abataano mu mmwe banaagobanga ekikumi, era ekikumi mu mmwe banaagobanga omutwalo ogumu, era munaawangulanga abalabe bammwe n’ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga omutwalo; n'abalabe bammwe munaabattanga n'ekitala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abataano ku mmwe banaawangulanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaawangulanga omutwalo mulamba. Mu lutalo, abalabe bammwe banaagwanga ne bafa mu maaso gammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abataano ku mmwe banaagobanga ekikumi, n'ekikumi ku mmwe banaagobanga akakumi: n'abalabe bammwe banaagwanga mu maaso gammwe n'ekitala.