Leviticus 26:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Nzija kubassaako eriiso, mbawe muzaale, mwale; ndinyweza endagaano yange nammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nnaabassangako omwoyo ne mbawa okuzaala ne mweyongera obungi, era endagaano yange nammwe nnaagituukirizanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naabassangako omwoyo, ne muzaala, ne mwala; era naanywezanga endagaano yange nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaabawanga mmwe omukisa, ne mbawa okuzaala abaana bangi, era nnaakuumanga endagaano gye nakola nammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naabassangako omwoyo, ne mbazaalisa, ne mbaaza; era naanywezanga endagaano yange nammwe.