Leviticus 27:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
tayinza kugiwaanyisamu ndala, oba nnungi kugiwaanyisamu mbi; oba mbi kugiwaanyisamu nnungi. Bw'ewaanyisibwanga, eyasooka n'ezze mu kifo kyayo, zombi ziba ntukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tasaaniranga kukikyusaamu oba kukiwaanyisaamu ekibi mu kirungi wadde ekirungi mu kibi; bw’anaabanga awaanyisizza ekisolo ekimu mu kirala, byombi kino na kiri ky’awanyisizzaamu binaafuukanga bitukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawaanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Taakyusenga kuteekawo ndala, wadde okuwaanyisaamu ennungi mu kifo ky'embi, oba embi mu kifo ky'ennungi. Bw'anaawanyisangamu emu okuteekawo endala, olwo ensolo zombi zinaabanga za Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tagikyusanga so tagiwaanyisanga, ekirungi mu kifo ky'ekibi, oba ekibi mu kifo ky'ekirungi: n'okuwaanyisa bw'anaawaanyisanga ensolo n'ensolo, kale eyo era n'eri ezze mu kifo kyayo zombi zinaabanga ntukuvu.