Leviticus 27:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa ensolo gye yeeyamye si nnongoofu, eteyinza kutambirirwa Mukama, anaabanga agisuubizza agireetanga awali kabona
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensolo omuntu gy’anaabanga yeeyamye bw’eneebanga etali nnongoofu, etakkirizibwa ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda, ensolo eyo esaanira okuleetebwanga eri kabona,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekirabo eri Mukama, anaagireetanga mu maaso ga kabona;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obweyamo, bwe bunaabanga obw'okuwaayo ensolo eteri nnongoofu, etekkirizibwa okuba ekitone eri Mukama, omuntu anaagitwalanga eri kabona,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'eneebanga ensolo yonna eteri nnongoofu, gye batawaayo okuba ekitone eri Mukama, awo anaayimirizanga ensolo mu maaso ga kabona: