Leviticus 27:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ye n'asalawo oba nnungi oba mbi; omuwendo gw'aligibalira nga gwe gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye alyokenga asalewo nga bw’eri, oba nnungi oba mbi. Omuwendo kabona gw’anaabaliriranga ku nsolo eyo, gwe gunaawebwangayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale kabona anaagikeberanga oba nga nnungi oba nga mbi, era omuwendo gw'anaalamulanga bwe gunaabanga bwe gutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kabona n'alamula omuwendo ogugigyamu, ng'alabira ku bulungi oba ku bubi bwayo. Omuwendo gw'anaalamulanga, gwe gunaabanga ogw'enkomerero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale kabona anaagiramulanga, oba nga nnungi oba nga mbi: nga ggwe kabona bw'onoogiramulanga, bw'eneebanga bw'etyo.