Leviticus 27:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli eyeeyama ennyumba ye, bw'aba ayagadde okuginunula, ku muwendo ogubadde gubaliriddwa ayongerangako ekyokutaano kyagwo, olwo ennyumba eriddamu n'eba yiye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo anaawangayo ennyumba ye eri Mukama bw’anaabanga ayagala okuginunula, anaayongerangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ng’ennyumba emuddira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'ebintu by'olamudde n'eba yiye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo agiwaayo bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oyo eyagitukuza bw'anaayagalanga okununula ennyumba ye, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu by'olamudde, n'eba yiye.