Leviticus 27:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oba yeeyama okuwa ennimiro ye mu Mwaka ogw'Ekijaguzo, omuwendo ogubaliriddwamu nga gwe gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa ennimiro ye, agiwaayo mu biseera by’Omwaka gwa Jjubiri, omuwendo ogubaliriddwa gunaasigalanga nga bwe guli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'anaawangayo ennimiro ye oluvannyuma lw'omwaka gwa jjubiri, enaabanga ku muwendo gwonna ogugiramuliddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaawangayo ennimiro ng'omwaka ogw'okujaguza gwakaggwaako, eneebanga ku muwendo gwonna ogugiramuddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'anaatukuzanga ennimiro ye okuva ku mwaka gwa jjubiri, eneebanga ng'okulamula kwo bwe kunaabanga.