Leviticus 27:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba we yeeyamira okuwa ennimiro ye ng'Omwaka ogw'Ekijaguzo guyise, kabona alimulamulira ssente ng'agerera ku bungi bw'emyaka egisigadde okutuusa ku Mwaka ogw'Ekijaguzo oguddako; omuwendo gwayo gulikendeerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’anaawangayo ennimiro ye nga Jjubiri eweddeko, kabona anagibalirirangamu omuwendo ng’agwesigamya ku myaka eginaabanga gibulayo Omwaka gwa Jjubiri eddirira gulyoke gutandike, n’omuwendo ogwali gubaliriddwa gunaakendeezebwangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'anaagiwangayo ng'omwaka ogwa jjubiri guweddeko, kabona anaagibaliriranga omuwendo gwayo okusinziira ku myaka egisigaddeyo okutuuka ku mwaka ogwa jjubiri, n'alyoka akendeeza ku muwendo gwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaagiwangayo nga gumaze ebbanga nga guweddeko, kabona anaabaliriranga omuwendo gwayo, ng'alabira ku myaka egikyasigaddeyo okutuuka ku mwaka ogw'okujaguza, n'akendeeza ku muwendo gwayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaatukuzanga ennimiro ye jjubiri nga guweddeko, kale kabona anaamubaliranga ebintu ng'emyaka bwe giri egikyasigaddeyo okutuusa ku mwaka gwa jjubiri, ne bakendeeza ku bintu bye walamula.