Leviticus 27:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli eyeeyama okuwa ennimiro bw'ayagalanga okuginunula, ku ssente ezigibaliriddwamu ayongerangako ekyokutaano kyazo, olwo erimuddira n'eba yiye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo eyagiwaayo eri Mukama bw'anaayagalanga okuginunula, anaagattangako ekitundu ekyokutaano eky'omuwendo ogwagisalirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awaddeyo ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, anaasasulanga omuwendo gwayo, n'agattako n'ekimu ekyokutaano eky'omuwendo ogwo, n'esigala nga yiye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okununula oyo eyatukuza ennimiro bw'anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu eky'okutaano eky'ebintu bye walamula, n'efuukira ddala yiye.